1. F. MASAGAZI NE BANNE: Balya n’ Enseekeezi

 a) Soma ekitontome kino wammanga n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ku nkomerero yaakyo.

ESSANYU

Essanyu bajjajjafe okuligeza
Ku ly’owa gonja ogamba baali beebafu?
Anti likwebuza likuddusa
N’obugujjana obulako n’obutuuliro

Bigezo ng’oyise olwo kiba kikujjuko
N’omutambuze Ojula okumuyita abirumike
Okirako akimezezza okw’enjala
Ayaluza enkoko omukira mu kwetala

Ng’ofunye lupiiya nkumu ezitagambika
Essanyu bukule busekooseko
Oyagala obaweemu bannoobo bwe musula
Anti ng’okujaganya okujaguza okujaguza kukutembye.

Kabuladda aboneseeko akukyalire
Kaluulu n’olaya obugalo ne buvuga 
Bifuba mubigwamu n’obwala ne mukaza
Zikimeeme ne sseggwanga ne zisalwa.

Gw’oyagala gw’osuuta gye gusula
Bwe gubasaza mu kabu nga muli naye
Essanyu, obukule n’obulali nemutema
Buwoomereza okirako ak’olwegguloggulo.

Omulwadde assuuse Katonda yeebale
Essanyu! Buyinike olwo bukomye
Oguze kano na kali mbu omusanyuse
Naawe olage essanyu lyo ng’assuse.

Mu ssanyu njubaekwakira mu bujjuvu
At’obunyonyu bukaabangabamalayika
Bimuli birabika ng’ebisekaaseka
N’omuddo ku ttale ne guba ng’omucamufu!

Ebibuuzo:

i) Menya engeri ttano (5) ez’enjawulo omuwandiisi z’awadde ezeeyolekeramu essanyu

ii) Nyonnyola obukugu omuwandiisi bw’ayolesezza mu kuzimba sitanza ze. Leeta ebintu mukaaga (6) eby’enjawulo

iii) Nyonnyola ku lulimi omuwandiisi lwe yeeyambisizza mu kitontome.

iv) Makulu ki agali mu sitanza esooka?

Oba

b) Abawandiisi ba Balya n’Enseekeezi batulabula okwegendereza abanti ab’engeri ezitali zimu. Nyonnyola nga weesigama ku katabo.

 

2.a) Maliriza engero zino nga bwe zoogerebwa

i) …ekula bigwo

ii) …tekaba kato

iii) Ndyebaza ndya…

iv) Mazzi masabe….

v) …..teguba muka

vi) …..nga sogwe bakigambye

vii) Zirindaba olwange….

viii) Tunaabiwulira…

ix) ….amala ebintu

x) …..tegugoba ngo mu nju

b) Nyonnyola amakulu g’engero zino agomunda

i) Ekibi tekirinda agenze mugga

ii) Ennongoosereza emasula omutego

iii) Atannagula tayisa lutala

iv)N’owemu akoomera

v) Sifugibwa afa abunga

 

3. Soma ekitundu ekikuweereddwa n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ku nkomerero yaakyo.

Ekika kye kibinja ky’abantu nga balina obuzaale n’obujjajja obumu era nga n’ensibuko yaabwe y’emu okuviira ddala ku jjajjaabwe omuberyeberye. Ekika kibeeranu abantu bangi era olw’obungu bwabwe bangi tebamanyagana mu buntu naye nga balina ekibagatta n’okumanyagana ng’omuziro, amannya n’omubala. Ebyo bye bimanyisa nti gundi yeddira muziro gundi kasita ekimu ku ebyo waggulu kimanyibwa.

Eggwanga ly’Abaganda liyawuddwa mu bika eby’enjawulo wansi wa Kabaka naye eky’ewuunyisa kwe kuba nti; okuba mu bika eby’enjawulo tekwawulayawula mu Baganda obutafaanana ng’eddiini oba ebibiina by’obufuzi. Abaganda nga bakola ekintu ekibakwatako ng’ekika basosoze naye oluvannyuma bwe kituka okukolera eggwanga enjawulo eyo eggwaawo mu lutemya lwa liiso.

Mu byafaayo bya Buganda ebiri mu bikumi n’ebikumi by’emyaka tewaaliwo lunaku n’olumu ab’ekika gundi lwe baatabaala ekika ekirala ekiraga obumu n’oluganda lw’Abaganda. Kabaka bwe yakyawa ekika ky’Enjovu n’asalawo okukiyigganya, ekka ekyo kyekweka mu kika ky’effumbe ne kibulira omwo olwo Kabaka n’alemwa okukisaanyaawo. Oluvannyuma ng’obuzibu buweddewo, ab’Enjovu baddamu okuba ekika ekigumu newankubadde nga Abaganda bwe baalugera nti, “Akugoba tabulwa ky’akusuuza,” amannya agamu ab’Enjovu ge batuuma gasangibwa ne mu Ffumbe kale ne tutamanya oba ga Ffumbe oba Njovu.

Bwebatyo Abagenda balimu we tuwandiikidde bino, ebika ng’ataano mu bibiri (52) naye nga bigenda byeyongera olw’ebika ebimu okugenda nga byekutulamu. Gamba ng’ekika ky’ennyonyi kati ekirimu: Ennyange, Nakinsige, ŋŋaali, Akasanke, Endiisa n’ebirala. Nga bwe twagambye waggulu, newankubadde Ennyonyo yekutuddemu naye tewali bulabe bwonna wakati w’ennyonyo ez’enjawulo Nakinsige, Ediisa oba Ennyange. Ate bwe gutuuka okukola nga Abaganda, tewabaawo njawulo yonna wakati w’ebika ebirala okuggyako okuvuganya mu ngeri ey’essanyu n’okwagalana, ng’abo bali wansi wa Ssaabataka, Ssaabasajja Kabaka wa Buganda.

Buli kika kirina obutaka oba ekiggwa gye kisibuka ng’obutaka obwo gem aka ga jjajjaabwe omuberyeberye eyatondawo ekika ekyo. Ekyokulabirako, omutaka omukulu w’ekika ky’Ekima onutaka bwe buli Bbira (Busiro); obwa Ndugwa ow’Olugave buli Katende mu Mawokota, obwa Mukalo ow’Enjovu buli Kambugu mu Kyaddondo, n’abalala bwe batyo mu butaka bwabwe mu bifo eby’enjawulo mu Buganda. Olwokubanga ekinyusi kya Buganda ey’edda kyali mu Busiro na Kyaddondo, n’obutaka obusinfa buli mu masaza ago.

(Kisimbuddwa mu Obuwangwa n’ennono z’Abaganda: M.Mutyaba ne E. Kituuka)

Ebibuuzo:

a) Leeta ebintu bisatu (3) ebigatta abantu mu kika n’okumanyagana wadde nga tebeemanyi mu buntu.

b) Eddiini n’ebibiina by’obufuzi omuwandiisi abyeyambisizza kutuggyirayo ki?

c) Okuyambagana n’ okukolagana mu bika ebyenjawulo kulagiddwa kutya?

d) Menya ebintu bitaano (5) eby’enjawulo omuwandiisi by’ayogedde ku bika mu kiba (paragraph) ekyokusatu.

e) Enjogera “Akugoba tabulwa ky’akusuuza,” etuukidde etya ku b’Enjovu?

f) Nyonnyola amakulu g’ebigambo bino nga bwe byeyambisiddwa mu kitundu ky’osomye.

i) mu buntu

ii) lutemya lwa liiso

iii) baatabaala

iv) bulabe

Ku buli kibuuzo (g,h,I,j)koppolala eky’okuddamu ekisingako obutuufu

g) Buganda ng’ensi……

i) ya byafaayo

ii) ebaddewo okumala ebbanga ddene

iii) teriimu bantu batalina bika

iv) erimu ebyafaayo ebyewuunyisa

h)… kye kyawonya ab’ekika ky’Enjovu obutasaabawo.

i) Ekisa kya Kabaka

ii) Okulowooza amangu
iii) Ab’Effumbe okujeemera Kabaka

iv) Obuntubulamu bw’Abaganda

i) Ssabataka mu Buganda….

i) y’afuga Bbira, Katende ne Kambugu

ii) y’amanyi ebifa ku bika

iii) y’akulira abataka abakulu b’ebika

iv) y’avunaanyizibwa ku mannya g’ebika

j) Ebika mu Buganda….

i) bisukka mu ataano mu ebibiri

ii) Kabaka y’ abibeezaawo

iii) obutaka bwabyo buli mu Busiro ne Kyadondo

iv) amannya gaabyo gafaanagana.

 

PHOBE MUKASA: Jjangu Tutontome


4. a) Soma ekitontome kino n’oluvannyuma oddemu ebibuuzi ku nkomerero yaakyo

ENJU EGGYA

  1. Baatuzukusa mu tulo,
    Omuliro gutinta nnyo,
    Ewa muliranwa ebbali,
    Ng’eriyo omuteeru!

  2. Twamaguka n’essungu
    Okutuzuukusa mu tulo,
    Nga waliwo akabenje!

  3. Twawulira n’ enduulu,
    Nga zisattiza ekyalo,
    Okwambala mu lulo,
    Nga tuwulira okuleekaana,
    Nga waliwo akabenje!

  4. Okulengera emmanju,
    Ng’ewa mulirwaanwa ssebo
    Ennyumba etetabutesi,
    Ng’eringa oluyiira!

  5. Twayanguwako nnyo,
    Okuddusa obuyambi,
    Endagala twazitwala,
    Ne tutwala n’amazzi!

  6. Abantu baddusaobulobo
    Nga bakirako amagabi,
    Nga battinattina baaba,
    Okutuukaku muyiira!

  7. Nakulabita omuliro,
    Bwe gulerembula ebintu,
    Bwe gumiraamira essubi,
    Olwo nga libidaanyaawo!

  8. Sikubuulira omuliro,
    Ogwabumbujja obulala,
    Ogwa bbululu, ogwa kyenvu,
    Awamu nekipaapali!

  9. Nakulabira ensasi,
    Bwe zimansuka okukamala,
    Ne tuwunyirwa evvumbe,
    Olw’eminya egiyidde!

  10. Nakuwulirira ebuugumu,
    Bwe litayiza abantu,
    Ne nkulabira entuuyo,
    Bwe zittulukuka abantu!

11. Erikka ne litimbagana,
Ne litaayiza ekyalo,
Ng’olwo okukanula amaaso,
Amaziga ge gakunnumba!

12. Abantu baakola omulimu,
Ogw’okusikayo obubuzi,
Okubuwonya okufuuka evvu!

13.Obwana bwalira okukamala,
Obukoko ne bukokkoleza,
Obuliga bwayaba ggwe wamma,
Nga bulaajana bulala!

14.Ebintu baabisomba nnyo,
Naye nga bikuumwa nnyo,
Olw’okutangira agabbi
Anti nga ge malindirizi!

15.Amamese twagalaba,
Nga geefubitka obusiko,
Nga gadduka ekibambulira,
Nga gawenyuka bulala!

16.Amaaso gaatutwakaala,
Amaziga negakuuluula,
Ennyindo ne tufeesa nnyo,
Nga bireetebwa enkoomi!

17.Waaliwo obuluulu nnyo,
Awamu n’ okuvuuvuuma,
Okutulikatulika,
Okwawulikikanga ennyo!

18.Empewo yafuuwa nnyo
Abaali mu muyonga,
Nga babanoonyeza ennyumba,
Aw’okubudama mu kiro.

19.Abookerezi bannaffe,
Ettima mukola lya ki?
Lwaki okujoonyesa banno,
Ng’obabonyaabonya bw’otyo!

Ebibuuzo:

i) Menya ebifaananyi bya mirundi mukaaga (6) omuwandiisi by’akozeseza mu kitontome kino

ii) Bukodo ki obw’enzimba omuwandiisi bw’akozesezza?

iii) Nyonnyola obubaka obuli mu sitanza esembayo

iv) Biki ebibaawo ng’eju eggya?

 

b) Weesigame ku bitontome bitaano (5) mu katabo, Jangu Tutontome onyonnyole omuwandiisi bw’asomesa empisa z’obuntubulamu.

ROBERT G. MUKASA: Tokiiya ŋŋonge Nto

Kola 5(a) oba 5(b)

5.a) Olugero Tokiiya ŋŋonge Nto lusaana okusomebwa abantu ab’emitendera egy’enjawulo. Laga emitendera etaano (5) nga bw’onyonnyola bulungi ebyo bye bayiga mu lugero luni.

Oba

b) “… Bwe yabimalaayo nnyina yassa ekikkowe n’agamba nti,

“Mmm, bulijjo ndi mu kulya nga Katonga ajjula!”…

i) Aniyaliko ne byamalayo wano?

ii) Nnyina ani gwe yali abibuulira?

iii) Mu bimpimpi ayogerwako biki bye yali amaliddeyo nnyina?

iv) Biki ebyavirako eyali anyumiza nnyina wano okwonooneka mu mpisa?

 

C.KALINDA: Pawulo Kirimuttu

6. a) Nga weigamu ku lugero Pawulo Kirimuttu, laga engeri omuwandiisi gy’atukyayisaamu ensi ye

 

b) Nyonnyola ebintu eby’enjawulo omusomi w’olugero luno by’ayigira ku maka ga Sssenga wa Pawulo ayogerwako mu lugero.

 

WYCLIFF KIYINGI : Gw’osussa Emmwanyi

7.a) Bw’osoma omuzannyo guno, nneeyisa ki ez’abantu ez’enjawulo omuwandiisi z’afaanan okuvumirira era lwaki azivumirira?

b) “Kiyingi adduukiridde nnyo olulimi Oluganda kuba awandiise emizannyo mingi nnyo ddala ate nga gikwata ku bintu ebyo byennyini bye tusanga mu bulamu obwabulijjo.” Omuzannyo Gwosussa Emmwanyi gutuggirayo gutya embeera eyo?