1. a) Ku bisoko ebikuweereddwa londako bisatu (3) onyonnyole amakulu gaabyo ag’omunda

i) Okuba omuzirakisa

ii) Obudde okuba obw’ekinnyikaggobe

iii)Kubbirira bigere

iv) Kugoba bumale

v) Kukaaba twawa

 

b) Ku bisoko ebikuweereddwa londako bibiri (2) obikozese mu sentensi eziggyayo obulungi amakulu gaabyo

i) Kugwa ŋŋanzi

ii) Kukalira mu muntu

iii) Kukuba mbekuulo

 

2. a) Malirizaengero bbiri (2) ku zikuweereddwa nga bwe zoogerebwa.

i) Ssekabwa ke weeyolera……..

ii) Ssebukoko buto, ……………

iii) …………….ewuwe alya luti

b) Kungero ezikuweereddwa londako ssatu (3) onyonnyole amakulu gaazo ag’omunda

i) Ssekawuka kaali kakulumye bw’okalaba okadduka

ii) Kayemba nnantabuulirirwa alisaabala obw’ebbumba

iii) Omwonjo omutono gukyamya enkoko ekyensuti

iv) Ku mbag, tekubula musiwuufu

v) “Ssekamuli kansaze,” nga ggwe okagogombodde

 

3. a) Nyonnyola ku bintu eby’enjawulo ebyoleka endowooza ya Matovu ku biyinza okukulaakulanya eggwanga lye mu Eddaame lya Nsimbi

  b) Nyoonyola bulungi engeri Matovu gy’akuumye n’okukulaakulanya olulimi n’ ebyobuwangwa

 

4a) Weesigame ku kamu ku butabo bwa Kaswa olage emizizio Kaswa gy’atuwa egikwata ku nswa.

b) Kaswa ng’omuzadde bintu ki by’ayagala okugabanako n’abalala aboomulembe guno mu  Omunaku Kaama?

 

5. a) Bwe liba ttafaali lya kuzimba Buganda, erya Busuulwa zzito ddala. Wa ensonga ezikakasa endowooza eno

 

b) Ddamu owandiike sentensi ezikuweereddwa ng’ogolola ensobi ezikoleddwa mu Luganda

i) Mukyala Nakityo azina bulungi

ii)Wano lwe lubiri omwami w’ essaza w’addukanyiza emirimu gye

iii) Amannya gange mpitibwa Kayemba Kulazikulabe

iv) Njoya lya ku kigere ky’ente

v) Bw’omala okusoosootola ng’ojjula emmere

 

c) Sentensi eno wammanga gizze mu biseera by’ Oluganda byonna. Laga ekiseera ky’okozesezza ku buli sentensi.

“Tulya emmere.”

 

d) Gatta sentensi ezikuweereddwa wammanga nga weeyambisa nakasigirwa entabaluganda.

i) Kafeero teyasoma. Yayita ebibuuzo

ii) Emboga zivunze. Tuzisudde mu lusuku

iii) Laba ebifaananyi. Bikwasa ensonyi

iv) Sirya masavu. Bampadde mangi

v) Abakazi beesimye. Katonda yabassaamu ebirungo

 

e) Mu mweso ogukuweereddwawammangawandiikamu amannya, ebikolwa ebigaziye ne nakalazi ng’obiggya mu kaboozi kano wammanga.

 

Wano omuyizi bwe yeewandiisa mu ssomero aba alina okwegulira ebitabo ebinaawandiikibwamu era akolagana bulungi ne banne mu by’okusoma. Eyo bakola batya?

Amannya

Ebikolwa ebigaziye

Nakalazi

     
     
     

f) Jjuzanakayunzi bbiri (2) ezituukira mu buli sentensi ekuweereddwa wammanga

i) Sandimubuuzizza…………..afuuse mukoddomi wange

ii) Mwana ggwe yozanga engoye…………ozigololenga.

iii) Nsanze bannyuse ……….baguddewoaduuka ne babimpa.

 

g) Sentensi ezikuweereddwa ddamu oziwandiike ng’okozesa nakasiba era ogisazeeko.

i) Enkoko zikookolima

ii) Omusajja tagula nnyama

iii) Emituba  gikula mangu

iv) Olugoye lwagudde wano

v) Abalenzi batambula ekiro

vi) Embwa egoba obusolo

 

h) Leeta erinnya ly’akawakatirwa akakozeseddwa mu buli sentensi

i) Awo mba nkolera ani?

ii) Oluggi plow temuluggula anto lumenyefu

iii) Nze neerabidde taata kye yantumye

iv) Tosenesaesseffuliya mu luzzi

v) Olutindo olwo olwo lutindirwa buli mwaka naye era lubbomose!

 

6. a) Nga weeyambisa eby’okulabirako eby’enjawulo, nyonnyola engeri ebiwuka gye byetooloolerwako empisa z’Abaganda ez’enjawulo

b) Nyonnyola mu bimpimpi ku bino wammanga

i) Okusumikira omusika

ii) Okuggya omuzigo mu  kkubo

iii) Ogwoto

iv) Okubikira olusuku