1.a) Ku mitwe egikuweeredwawammanga, londako gumu oguwandiikeko emboozi ya bigambo 350 -400

i) Okuyamba abantu b’ omubyalo okusitula ku mutindo gw’embeera y’amaka

ii) Okusomesa abantu ku buvunaanyizibwa bwabwe mu kulonda kye kiyinza okumalawo emivuyo mu kulonda kwonna. Kubaganya ebirowoozo.

iii) Baagala ayaze

iv) Omuganda yava dda ng’ amanyi okulabirira asobobole okugoba endwadde.

 

b) Ku mitwe egikuweeredwa, londako ebiri buli gumu oguwandiikeko emboozi ya bigambo nga bw’olagidwa

i) Ggwe ssentebe w’abavubi ku mwalo gw’ewammwe omaze okuwuliriza omusango ogwawabiddwa omu ku bavubi ng’avunaana munne okumubbira obutimba. Wa ensala yo.

(Kozesa ebigambo nga 150)

ii)Wandiika by’onoosomera mu lukiiko lw’abakyala ba disitulikiti y’ ewammwe ng’onyonnyola amakulu agali mu mwenkanonkano abakyala gwe basiiba bayimba (Kozesa ebigambo nga 200)

iii) Ggwe mukulu w’ essomero erimu, ebiseera ebiyise mwalanga ebifo by’abasomesa era bangi ne basaba. Wandiikira omu ku batayiseemu ng’omutegeeza ku nsonga eyo (Kozesa ebigambo nga 100)

iv) Ggwe omu ku beesimbyewo ku kifo ky’okukikirira abantu b’ekitundu kyammwe mu lukiiko lw’eggwanga, osabiddwa okweyogerako. Wandiika by’onooyogera. (Kozesa ebigambo nga 200)

 

2.  Funza ekitundu kino bu bigambo nga 100

            Amazina amayigirire gamenya omugongo. Bw’oba okimanyi nti omugongo gukukaluba nga omutayimbwa, olwo ekiba kikwefunugguza mbu obiibye kye ki? Naddala abaana b’amasomero tebakoppye woowe! Olulengera omusindisi w’ekigaali nga yagolodde olugoye n’ateekamu obukindo bwa nabbubi. olwo enkeera omuyizi yunifoomu akeerera mu ya nabbubi! Bwe kituuka ku bawala ne gujabagira. Beefumita ebituli buli wantu, olwokuba baalengedde omuyimbi eyakoze kye kimu. Ddala ddala oddira otya okutu oba amatu n’ogawomoggola ebituli munaana buli kumu? Eryo si ddalu lyennyini? Bwe litaba lyo, mpozzi nga kazoole! Amatu nno kale naye n’ennyindo?! Waliwo gwe nasanga nga n’omumwa aguwomoggodde, kuliko ebirengejja! Nasooka ne ndowooza nti oba aka Nadduli, ntegeeza mutambuzzaddembe nti oba ke baali bambazza engoye z’abawala? Naye okwekaliriza nga muwala! Olwo ne weewuunya, yali yeegema kufukula hi?!

            Kozzi mbadde nkulaga awawomoggolwa w’olaba? Nkukakasa nno nti ne w’otolaba bawomoggolawo! Tombuuza nti wa? Wabula okukubbirako akatono, weetegereze nnyo amakundi g’abawala abamu, agamu mawomoggole! Nkulaba weebuuza bwe nagalaba! Ekyo n’omuto akiddamu. Ate oba bagayisa weru! Omulenzi asoma bino, nkulaba nga otandise kulatta nga eyakasibira e Mbaale! Owoza kimu mbu abawala ka babagambeko! Nedda ssebo! Nammwe obuyisa bwe Mugenda mukopperera bututamye. Otandika otya okukuza enviirin’ozisibamu ne paafu? Olwo tofuuse kimpemempeme! Ate oluva awo nga ssempappe tatandika kubigula?! Eno y’entabiro y’amayisa amabi agatandise okusensera ensi yaffe. Ƞƞamba ag’empanka. Ziyite livansi. Era tontegedde? Bw’oba tontegedde, kitegeeza toteekeddwakumanya ebyo, era mbikomezza ewo. Kyokka nkwebaza olw’okubeera nti ggwe weekuumye nga okyali mwanan mulungi n’okutuusa kati.

            Lwa kwagala kusooka kukubira tooki mu nsi y’abavubuka ate nga naawe oli muvubuka, eky’amazima nabadde njagala kukutuusaako omuvubuka Lubyogo, oluvanyuma eyakazibwako erya Opyuma. Lubyogo yali mulenzi mukakkamu nnyo ku ssomero era nga buli muyizi amwegombesa. yakeeranga era tewali mulundi na gumu lwe yatuuka kikeerezi ng’akyali muntumulamu. Mu kibiina si yeeyali akulembera kyokka nga yabeeranga mu kkumi abasooka. Yalinga muyiikivu nnyo era nga ne bazadde be bamweyagaza. Buli lwenzi jukira obunyiikivu bwe, ennaku n’enkwata olw’ebyo ne gajja ku Kyalo ky’ewaabwe mbu gaze kwokya manda, laba Lubyogo bw agafunako omukwano.

            Ekyasinga okwewuunyisa Lubyogo ge gavubuka okutemanga emiti nga tegakoowa ky’ava agabuuza wag ye gaggya amaanyi. Evvubuka erimu kwe kumutegeeza mbu balina akadagala kaabwe, bwe bakanywa kabawa amaanyi ne bakola ppaka kiro. Akanaafa, laba Lubyogo bw’alemerako okumanya akadagala ako! Eddenzi kwe kumuteekamu kasundabbaasi nti ate ye n’amala akanywako, y’ajjaokukulembera mu kibiina.

            Era okukoppa tokugezanga! Lubyogo, eyali takola na bubi mu kibiina, yayagala y’aba akulembera! Wuuyo akadagala akanywedde! Musajja wattu eyalinga asooka ku ssomero, lwe yanywa akadagala yatuuka ku ssomero ssaawa musanvu! Kyokka eka yavaayo emu yennyini, ate nga waali si wala yadde! Banne baamuyitangako mu kkubo ng’atambula akutaamirizza, asooba era ng’ atunuza nkakaba! Banne olwamubuzanga ogubadde ng’abaddamu kimu nti, ‘Waya z’amasaanyalaze zasse mu kkubo, beegendereze tezibakuba! Olwo banne nga bafa enseko! Ate nga ye abeewuunya! Olwatuuka ku mulyango gw’ekibiina yakiyingira ayavula! Olwamubuza ogubadde ko ye nti alaba akatuli katono tagyawo ng’ayimiridde!

            Omusomesa yalaba guli gutyo kwe kumumuuza bye yanywedde, ko Lubyogo nti, “Opyuma”! Omusomesa bwe yakyefumiitirizaako ennyo n’akizuula nti ategeeza “Opiyamu”! Kyokka olw’okuba abayizi baali bawulidde kiri, olwo Lubyogo ne bamukazaako erya “Opyuma”! Munnange nno kaafuuka kagenderere, era Lubyogo enjaga yamulemesa okusoma kyokka ate nga yaginywa kwongera kusoma! Ago sige mazina amayigirire?! Kyokka yamuwa amaanyi ag’ensi n’eggulu wadde nga nago gaamuzalira akabasa, biyite ebitukula makaayi by’azaalira ku ttale! Anti lwakya ente sseddume ya kitaawe ekutudde ko Opyumanti; “kano akamyu obumyu kabalema katya okukwata?” Wuuyo agibase ejjembe, ente emuwuubye, abaaliwo bakubye enduulu, abalala nti “gite!!!” Kyokka ye Opyuma ng’alemeddeko! Ente yabuukamu ebiri n’emukasuka eri, ate n’emulumbayo n’eryoka emuggunda omutwe! Nakati akyali ku ndiri! Weegendereze by’okoppa. 

 

3. Soma ekitundu kino n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ku nkomerero yaakyo

            Bajjajjaffe baalugera nti abangi we basonga olunwe… era nti mu mbu, mwe muva ekituufu. Bwe bitavudde wala, abantu bulijjo babadde booger anti NRM bwe yali mu nsikp yakola entegeka gye baalowoozaamu okubeera ey’eggwanga. Entegeka eyo n’erambikibwa mu nnyingo ekkumi. Abantu oluusi batemerera gavument eggambo mbu osanga okwongereza kunnyingo ezo ekkumi, ne Konsitityusoni nayo yabagibwa dda, nga NRM bw’egyetaaga, era nti omulimu abantu gwe baliko ogw’okukola endala babaguumaaza buguumaaza.

            Ebiseera ebisinga mbadde ssikkiriziganya n’abantu ab’endowooza ng’eyo. Naye nno nange ƞƞenzentandika okutenguka olw’ebyo bye ndabanga biringa ebikolebwa mu ngeri y’amankwetu.

            Ensonga enkulu eyaweebwa mu kukola Konsitityusoni empya kwe kuba nti ziri enkadde tezaalimu ndowooza na byetaago by’abantu; mbu era tezaakolebwa mu bwenkanya. Endagaano nnyingi ezizze zikolebwa gamba ng’ezo eza 1884, 1990, 1995 wakati wa Bakabaka n’abafuzi b’amatwale. naye kasookedde luba nga lwa mmindi, yali konsitityusoni ya 1962 abantu mwe baafuniraebyetaago byabwe n’obuweerero. Mu mazima abantu baakiikirirwa bulungi mu bwenkanya newankubadde ng’abamu kino bakiwakanya. Abantu beesigaliza n’obuyinza okugikyusaamu ng’obwetaavu na bubaddewo. Omumpembe Obote yalaba talina w’agiyita, nagiggyawo na kifuba n’agiyuzaayuza, n’akakaatikawo eyiye eya 1967.

            Ekyewuunyisa, NRM eyava mu nsiko ng’ezze okutereeza n’okulongoosa ebyasoba, ekiwandiiko kya Obote tebaakiraba ng’ekimu ku byasoba. Mu kifo ky’okutuzzaayo obutereevu ku konstityusoni eya 1962, baasalawo kukolera ku ya 1967, olwo ne batugamba tukole empya; abantu abamu gye balumiriza nti yakolebwa dda, yajjira mu kikapu.

            Kwe bakakasiza, bagamba nti Abaganda abasukka mu 60 ku buli kikumi, bonna baawaayo ebirowoozo byabwe. Kuno kw’ogatta ebibiina, n’olukiiko lw’abataka ba Buganda. Kale kisoboka kitya nti ebiwandiiko byabwe tebyalabikako mu bbago lya Odoki? Bajuliza n’etteeka erizza obuyinza mu Disitulikiti erigyeewo abami baffe Abaamasaza be twagala ne baweebwa amannya amapya agatategeerekeka ng’ensoga eziweebwa tezimatiza nga kiringa abatuukiriza enteekateeka ezaava mu nsiko.

            Ekyomukisa, tuteegezeddwa nti wakyaliwo omukisa okusobola okutaakiriza ebyaffee ne biyingizibwa mu konsitityusoni era ng’eddagala liri limu lyokka, lya kulonda babaka baffe bagende mu lukiiko bawadeewadeko osanga Katonda anaatujjukira.

            Ssikkaanya n’akatono n’abo abagenda bagaana abantu okwewandiisa mbu tebayinza kwewandiisa kubanga tebamanyi bantu be bagenda kulonda. Bw’oba olindirira emmere efumbwa ng’eneeriibwako banaabye mu ngalo bokka, eky’amagezi si kwe kunaaba n’olyoka olinda emere ejje weebonanyeemu ekuwoomera okusinga okwejjusa ekyakuganye okunaaba?

            Baganda bannange basaana bamanye nti ebiseera eby’okulwanira ebweru byakoma dda. Obuteewandiisa tebuliimu kalungi okuggyako okutuggyako n’okufiirwa akatono ke tubadde tufunyeewo. Abaali abakulu mujjukira ebyaliwo mu gy’enkaaga mu kwewandiisa n’okulonda okwasooka mu Uganda. Bannayuganda 97 ku 100 baagaana okwewandiisa era tebaalonda naye abo abasatu abeewandiisa be bakola Gavumenti. Olutalo luno si lwa mmundu naye lwetaaga abalwanyi abazira abasobola okukwana emikwano. Eby’okwekansula tebirimu! Mujjukire ebigambo bya katikkiro bye yagamba nti tewali kizibu kityaniza kugonjoolwa singa abantu bayita mu kuteesa.

            Bwe weetegereza ebigambo by’omukulu oyo, olaba bulabi nti tewali nsonga lwaki omuntu ayagala okufuna by’ayagala teyandifunye ttikiti emuyingiza mu lukiiko. Abaatusooka baatugamba nti nnyama ntono okaayana eri mu nkwawa. Ennyama entono ey’ebyaffe bye tufunyeewo tugiteeke mu nkwawa, tukaayanire esigaddeyo, n’omutonzi w’ anaatuyambira anti lubale mbeera…

Ebibuuzo:

a) “Abangi we basonga olunwe…” Abangi olunwe balusonze wa?

b) Omuwandiisi ayanja ebirowoozo bibiri ebisingira ddala obukulu mu kitundu kino. Bye biruwa?

c) Omuwandiisi azze atya okukkanya n’abatemerera gavumenti eggambo?

d) Nyonnyola obukulu bw’okwewandiisa obulagiddwa mu kitundu kino.

e) Bintu ki ebyeyambisiddwa okuggumiza nti kisaanidde abantu okwewandiisa?

f) Konsitityusoni ya 1962 eyawukana etya ku ndagano eza 1884, 1900, ne 1955?

g) Nyonnyola amakulu g’ebigambo bino nga bwe byeyambisiddwa mu kitundu.

i) n’erambikibwa

ii) batemerera,

iii) babaguumaaza bugumaaza,

iv) y’amankwetu,

v) eby’okwekansula

 

4.a) Kyusa ekitundu kino okizze mu Luzungu

            Eric muvubuka ow’emyaka abiri mu musanvu omugoggofu era omugagga. Ye muvubuka buli muwala gwe yandyagadde okuba naye. Kyokka alina obunafu, alowooza nti bulijjo ye mutuufu era tawuliriza mulala yenna. Bw’asalawo tewali ayinza kumukkirizisa kukyusa. Akola ebintu ebikontanira ddala ne mugandawe by’ amusuubiramu.

            Abantu abamu bamuyita wa mutwe munene ate nga ye mugandawe agamba nti Eric wa mputtu. Okusinziira ku munnandowooza omu owoku ssettendekero e Makerere, obutali buwulize ye muntu obuteeyisa kusinziira nga bantu bwe basuubira. Bwe baba baana, baba tebaagala kukola bantu balala bye babasuubiramu, ekintu Eric ky’akolera ddala.

            Abaana abakula nga si bawulize batera okulaga obubonero obwo mu buto bwabwe. Obubonero buno busobola okweyoleka oba obuteeyoleka. Mu buto bwabwe, abaana abatali bawulize bajja kulaga obubonero nga okweggya ku bannaabwe abalala ne bwe baba nga tebassa kitiibwa mu babakulira. Abaana abatafiibwako bajja kufuuka abatali bawulize kubanga omuntu omu ne bw’abagamba okuko ekintu ekirungi mu mutima omulungi, balowooza nti bali mu kunyoomebwa, mu ngeri eyo ne batafiibwako.

(Kisimbuddwa mu Saturday Monitor, 2/01/2010 nga kikyusiddwamu)

 

b) Kyusa ekitundu kino okizze mu Luganda.

            The battles were raging on in the out skirts of the city. The city public water works had been blown up three days before. Power and fuel were rationed as vigilant government watch dogs monitored all the routes leading to the city, watching out for any conspirators. Dark – green clad as they were, they could not be seen from far. Many innocent citizens were tortured and thousands of villagers and town dwellers alike left their houses in search of security.

            Two days before, the general populace had frozen in their homes with an atmosphere of uncertainty surrounding them. Shooting and general terror were now countrywide. Rumor had circulated at first, that the country had been invaded with the halt of civilian movement, none could tell with certainty what was happening. People were only speculating as to what might have happened.

            The crisis had started in towns and spread to the villages. The day before, the villages were more concerned with the welfare of their relations in towns. They had watched with awe, TV pictures of mutilated dead bodies and children and women with amputated limbs lying on the streets. They were far off in town and were labeled enemies of the state, conspirators against the nation and saboteurs of civil order. The full meaning of the exercise had not been comprehended yet by the rural people. But they gradually came to know. Gun wielding men had whisked away a prominent member of an opposition party. Ssonko, for that was his name, was frog marched in his courtyard, interrogated to establish his identity and was tossed into a green tarpaulin covered lorry, which drove off. Minutes late, it stopped and a naked headless body was rolled out.