ELI N. KYEYUNE: Bemba Musota

1.“… Mumbowa, moa effumu. Nze – sivumibwa Katwewungu munsi eno gye nfuga nga buli omu anvunnamira.”

a) Endowooza z’okwemanya eryanyi ereetera etya abantu bano ebizibu:

i) Nannyini ndowooza eyo,

ii) Bannansi abafugibwa?

b) Ssomo ki abafuzi b’ensi ya Bemba lye bafuna mu mbeera y’okwemanya n’okufugisa eryanyi?

 

2.a) Wesigame ku kiragibwa eky’ekkumi n’ennya ekyogera ku “Bemba ebintu bimwonoonekera” olage ebintu gye bimwonoonekeramu.

b) Embeera eyoeyigiriza ki abakulembeze?

 

ENGERO ENJIYE

3. Soma ekitontome kino n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ku nkomerero yaakyo.

            ASIKA ASIKE

Anti, olwo ndi mu kunoonya omusono
gwe nagoberera nga nnyumya ensi nga
bwe ngirabye

Buli asika asike, ensike zirwa?
Ddala ensiko z’essenke zisikirwa?
Asika mu ttumbi, n’oyo mu ssana
Mu nkuba engere, abandi mu mpewo
Olulala mu ssanyu oluusi mu nnaku 
Bonna basika?

Ow’ omuttumbi n’asika, n’adda mu bbirya!
Abaganda be abato, ne bayaaya mu nnaku
Bannyina ddala, asindika gye bawaswa
Olwo ali mu bbirya, yeekkuse ennusu!
Mbu olwo musika, asikira ki?
Ffena tusike?

Mu nkuba ekuba, n’oyo n’asika
Bw’amala ossika, n’amanya afunye
N’asala eggezi, n’adda ku nsike
N’afuna ennusu, ng’ali ku nsike
Abandi n’alumya, abalemwa ossika
Kyenva nno mbuuza, wattu eyasika
Naffe tusike, ensika ziba bbiri?

Ebibuuzo:

a) Nyonnyola engeri olukusa lw’omutontomi nga bwe lweyolekede mu kitontome kino.

b) Masagazi anyumisa atya by’ayogerako mu kitontome kino?

c) Nyonnyola obubaka omutontomi bw’atutuusaako mu kitontome kino

d) Nyonnyola amakulu g’ebigambo bino nga bwe bikozeseddwa mu kitontome.

i) n’adda mu bbirya
ii) Ng’ali ku nsike
iii) y’ekusse ennusu
iv) ensika ziba bbiri
v) N’oyo mu ssana

 

W.KIYINZI: Lozio bba Ssesiriya

4. Abantu abali mu muzannyo guno beesunga nnyo ebintu eby’enjawulo naye ne bakkakkana nga tebabituuseko. Kino Kiyingi akiraze atya mu muzannyo gwe Lozio bba Ssesiriya?

 

5. “Ee kale bwendi bwentyo, sirina mirembe. Era bw’ontunuulira olaba ng’omubiri gwonna si musanyufu.”

a) Nyonnyola embeera ekulembera okwogera ebigambo ebyo

b) Nyonnyola ebiviirako omubiri gw’omwogezi obutaba musanyufu

 

M.B NSIMBI:Bwali Butamanya

6. Ebintu Nsimbi by’ayogerako mu Bwali Butamanya bituzimba bitya okubeera abantubalamu?

 

7. Nokolayo abantu ba mirundi ena(4) onyonnyole obubaka omuwandiisi bw’aboolekezza mu ssula “Akeediimo mu Kakofy Junior School”.

 

8. Mu kuwandiika Mpaawo Kitakya, omuwandiisi yalaga nti tateŋŋana na byabuwangwa. Nyonnyola n’ ebyokulabirako ebyobuwangwa bye yawandiikako.

 

OKOT P’BITEK: Omulanga gwa Lawino(Kyakyusibwa Abaasi Kiyimba)

9. Soma ekitontome kino wammanga n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ebikikwatako:

Ennyumba ya Baze Yafuuka Gubirabira gwa Bitabo

Aboluganda munsaasire.
Nsula ndaajana
Nkaabira mwami wange Ocol
Alabika nga yawunga
Olw’ebitabo ebingi bye yasoma

Eyali Ocol
Kati twasigaza kiwuduwudu,
Yakyuka ebikolwa n’ebirowoozo,
Ali ng’omugwira mu bantu be
Ocol by akola
Biri nga bya mwana muto,
Kati asinga kumanya kya kuvuma;
Ocol avuma buli kiramu,
Ne maama anzaala n’ amutwaliramu.

Ocol bweyali akyannyonyoogera
Ng’ansendasenda mmufumbirwe,
Yali musajja ddala
Nga tannafuuka kimpemempeme.
Amaaso ge gaalimu obulamu,
Ebbeere lyane lyali likyali lya ttutu,
Nga Ocol bw’alitunuulira tatemya.
Amatu ge gali tegannaggala,
Nga tannafuuka kisajja kya bakazi.
Yali musajja akozesa obwongo bwe,
N’akola omutima gwe kye gusazeewo.

Ocol bwe yali yaakampasa
Yalaga nti amanyi ekitiibwa ky’amaka
Ng’addaabirizannyo mukyala we,
Nga tayagalannyombo mu maka,
Yali musajja Mucholi ddala

Nkaabira Ocol
Muzzukulu wa Lutany-Moi
Omusajja omuzira nnamige;
Nkaabira Ocol
Azaalibwa omukazi atasiba zikweya,
Agik muwala w’abazira be Okol

Abazungu baze be yasoma nabo
Nakati bakyamutenda obugezi,
Kubanga mu kibiina ye yabasinganga
Ebitabo by’Abazungu bye yasoma
Yabisitula n’abikuba awaka,
Biri mu nnyumba yaffe
Mwe biwunyira obukuku.

Ebitabo ebingi Ocol bye yasoma,
Byamukyusiza ddala obwongo,
Ne yeerabira empisa z’abantu be.
Ocol yafuukira ddala ogukongekonge,
Ogutalina nsonyi wadde obuntu bulamu
Bw’aba ayogera,
Avuma buli kintu Ekicholi,
N’enkola z’Abaddugavu zonna
Aziyita za nzikiza na bubuze.

Ebitabo ebingi Ocol bye yasoma
Byattira ddala amaaso ge
Kati ayambala bigaalubindi ebiddugavu,
N’alyoka atuula mu gubira gw’ebitabo
Yenna n’asirika n’aba nga ekibumbe.

Ebibuuzo:

a) Laga bulungi ensegeka y’ekitontome kino

b) Ani atontoma mu kitontome kino?

c) Omutontomi ayogerwako mu (b) ali mu mbeera ki era lwaki?

d) Nyonnyola bulungi obukugu bw’omuwandiisi mu nzimba y’ekitontome kino.

e) Laga amakulu g’enyiriri zino nga bwe zikozeseddwa mu kitontome

i) Nga tannafuuka kimpemempeme

ii) Nga tannafuuka kisajja kya bakazi

 

10.Nyonnyola engeri omuwandiisi gye yeesigama ku mbeera z’abantu eza bulijjo ng’awandiika Omulanga gwa Lawino

E.K.N KAWERE: Zinunula Omunaku

11.“Twaleka bali mu mpuku abalenzi nnyini beeganzise nga tugolomola bwato bwaffe nga tulaga ku kizinga kirala, anti baalugera dda nti ‘Bwosika ekitajja…’ ”

a) Bantu ki aboogerwako mu kitundu ekisimbuliziddwa?

b) Omuwandiisi azimbye atya eby’okuyiga nga yeeyambisa ebizibu ebituuka ku bantu ab’enjawulo mu ssula eno?

 

12. Olugero Zinunula Omunaku lufumbekeddde,u ebintu bingi ebireetera omusomi okulowooza nti tebisoboka mu mbeera y’obulamu obwabulijjo. Nokolayo kkumi nabibiri era obinyonnyoleko.